Amawulire
Abatuuze balemedde ku ttaka
Abantu abatudde ku ttaka okuyita oluguudo lwa Entebbe Express abatanasasulwa basibye omulimu gwonna
Eno y’ensonga lwaki kati amyuka omukulembeze w’eggwanga Edward Kiwanuka Sekandi agenda kusisinkanamu mukama we ku nsonga eno
Ssekandi agamba nti emirimu gyesibye mu bitundu ebimu olw’abantu abakyagaanye okusenguka ekigenda okukosa nsalessale eyassibwaawo okumala oluguudo luno
Bino Sekandi abyogedde alambula oluguudo luno n’ategeeza ng’abantu ababeera ku kirombe, ne ku bidiba by’ebyenyanja bwebakyagaanye okusengulwa.
Yye Minista w’ebyenguudo Abraham Byandaala aagamba nti bannanyini bibanja babawadde obuzibu bwa manyi
Byandala era agamba n’abamu ku benganda nabo benyini balina enkaayana ekibakalubirizza nga tebamanyi wakusasula mutuufu.