Amawulire

Abatuuze basatira oluvanyum alw’omugga okubooga

Abatuuze basatira oluvanyum alw’omugga okubooga

Ivan Ssenabulya

September 14th, 2022

No comments

Bya Mike Sebalu,

Abatuuze mu kibuga Elegu ekisangibwa eri mu district y’e Amuru bali mu kasattira, Omugga Onyama ogusangibwa mu kitundu ekyo bwegubooze olw’enkuba efudemba mu bitundu ebyetoolodde district eno nga kati amazi gatandise okuyingilira amayumba g’abantu.

Ekifo kino kisangibwa ku nsalo era nga ne motoka ezibadde zisuzibwa mu bifo wezi parking, banyinizo bazidusizzamu olwokutya ekiyinza okudilira.

Eyalabddeko nagage ali mu kitundu ekyo Crainer Amzano, atubuulidde nti n’abantu abasula mu bitundu by’olubalamirize lw’omugga guno batandise okubyamuka.

Agamba nti n’akalipagano k’ebidduka katandise okukwata olw’abanyini bidduka bangi okugezaako okuddusa ebyabwe olw’okubituusa ekibambulira.