Amawulire
Abatuuze b’e Bukomansimbi bekubidde enduulu ku bubbi
Bya Gertrude Mutyaba,
Abatuuze ku byalo okuli Mirembe, Kikuuta, Busaabala, Nyonjo ne Makuukulu mu gombolola ye Kikuuta mu district ye Bukomansimbi beekubidde enduulu eri abatwala eby’okwerinda mu district eno babayambe ku babbi abasusse.
Abatuuze bagamba nti ebikolwa ebimenya amateeka omuli obubbi bw’ebisolo, okumenya amayumba byeyongedde nga mu kiseera kino
bano balumiriza nti bakoze buli ekisoboka naye ababbi babafuukidde ekyambika nga kati Bali mu kutya nti bano tebandikoma ku bubbi bwa bintu wabula n’okutwala obulamu bwabwe.
Abatuuze era balumiriza embwa ya poliisi ekonga olusu okukwata abantu abatali bamenyi b’amateeka mu kitundu kyabwe.
Ab’ebyokwerinda nga bakulembeddwamu amyuka Omubaka wa president, e Bukomansimbi Fred Kalema, bakubye olukiiko okuwulira okwemulugunya kw’abantu bano.
Akulira okunoonyereza ku buzzi bw’emisango ku poliisi ye Kikuuta sajenti Faisal Kisige ategeezezza nga poliisi mu kitundu kino bwetalina ntambula erawuna kyokka naategeeza nti kituufu obubbi bw’ebisolo n’okumenya amayumba buyitiridde wabula alumirizza aba bodaboda mu Kitundu kino okuba nga bebatambuza ebibbe mu budde bw’ekiro.