Amawulire

Abatuuze e Bukomansimbi balajana enkuba eboononedde ebirime

Abatuuze e Bukomansimbi balajana enkuba eboononedde ebirime

Ivan Ssenabulya

October 19th, 2022

No comments

Bya Gertrude Mutyaba,

Nnamutikwa wenkuba eyafudemye akawungeezi ayise mu disitulikiti eye Bukomansimbi yasanyizaawo ebirime by’abatuuze mu gombolola ye Kitanda ku byalo okuli Mirembe ne Busaabala.

Abatuuze bagamba nti ensimbi baazeewola mu banka nga baalina essuubi okukungula.

Bano bagamba nti ekyeya kyabakuba nnyo nga baalina essubi enkuba keyajja, bajja kulima bedaabulule.

Ebirime ebyayononeddwa mulimu kasooli, muwogo, ebitooke, ebijanjaalo, lumonde, vanilla n’ebirala nga abatuuze bagamba nti tebamanyi kyakuzaako.

Ssentebe w’eggombolola ya Kitanda Joseph Kamuli agambye nti Bukomansimbi kuba yessinga okukosebwa olwenkyukakyuka mu y’obudde asaba gavumenti ne Ministry yebigwa bitalaze okusitukiramu babadduukirire n’emmere.

Mungeri yemu enkuba yatikkudde n’akasolya ku poliisi ye Bukomansimbi ekyazingamizza emirimu ku poliisi eno.

Ekizimbe ekyakoseddwa kwekuli ofiisi y’akulira poliisi E Butenga, anoonyereza ku buzzi bw’emisango mu kitundu kino, n’awaterekebwa ebiwandiiko.