Amawulire

Abatuuze e Rukungiri basabye Museveni akangule eddoboozi ku Bisiyaga

Abatuuze e Rukungiri basabye Museveni akangule eddoboozi ku Bisiyaga

Ivan Ssenabulya

February 21st, 2023

No comments

Bya Damali Mukhaye,

Abatuuze e Rukungiri basabye pulezidenti Museveni okufuula omuzze gwobuli bwebisiyaga mu ggwanga omusango gwannagomola bweba yakubirwanyisa naddala nga bimaze okubutikira amasomero.

Emikutu gy’amawulire gizze gyoleka omuzze guno okuba nga gusenkedde eggwanga era kino kyavirako ne palamenti okukangula ku ddoobboozi okugusanikira.

Bwabadde ayogerera mu lukungana olumanyiddwa nga Baraza olutegekebwa yafeesi ya Ssaabaminisita, abatuuze baategeezezza nti omuzze gwe bisiyaga guwuliddwako ne mumasomero ge Rukungiri agenjawulo.

Ssentebe wa LC southern division mu Disitulikiti y’e Rukungiri, Bernard Mukumi agamba nti abazadde bavaayo mu kutya kunsonga eno nasaba gavumenti okusitukiramu ngeyatega ogwekyayi etaase eggwanga kumuze guno.