Amawulire
Abavubuka abeekalakaasa bazzeeyo e Luzira
Abavubuka omwenda abavunanibwa okukuba olukungaana olumenya amateeka bongeddwawo ku alimanda e Luzira oluvanyuma lw’ababadde balina okubeyimirira obutalabikako.
Bano kuliko Ferdinand Luutu, Amos Ojok, Oloya Akena, Ambrose Juma, Nasimbwa Nalongo, Joram Mwesigye, Robert Mayanja, ne Norman Tumuhimbise.
Bano kati bakudda mu kkooti ya City hall nga 12 August 2014 maaso g’omulamuzi Elias Kakooza.
Oludda oluwaabi lugamba nti bano baaletawo akakyankalano mu kibuga bwebakuma omuliro ssaako n’okukunumba ne kkeesi y’abafu nga bemulugunya ku mbeera eri mu ggwanga.
Baakulabikako maaso g’omulamuzi wa kkooti ya city hall Elias Kakooza nga 12 th omwezi guno.