Amawulire

Abavubuka ba ssanduuko bayimbuddwa

Ali Mivule

August 21st, 2014

No comments

Youth arrested in coffin

Abavubuka abeekalakaasa ne ssanduuko y’abafu mu kibuga beeyimiriddwa.

Balagiddwa okusasula emitwalo 40 buli omu ate ababeeyimiridde bakuwaayo obukadde 3 zezitali za buliwo

Ku bano kuliko  Ferdinand Luutu, Amos Ojok, Oloya Akena, Ambrose Juma, Nasimbwa Nalongo, Joram Mwesigye, Robert Mayanja, ne  Norman Tumuhimbise.

Balagiddwa okusasula emitwaalo 40 buli omu ezabuliwo ate ababeeyimiridde bbo balagiddwa okusasula obukadde busatu ezitali za buliwo.

Ababeeyimiridde kuliko akulira abakyala ba FDC Ingrid Turinawe n’omubaka Paul Mwiru

Munnamateeka wa gavumenti Joyce Onyango ategeezezza kkooti nti okunonyereza kukyagenda mu maaso era bwatyo omulamuzi Moses Nabenda omusango n’agwongezaayo okutuuka nga 12 omwezi ogujja

Oludda oluwaabi lugamba nti nga 4th omwezi guno, abavubuka bano beekalakaasa ne sanduuko ya bafu mu kibuga mu ngeri emenya amateeka