Amawulire

Abavubuka bakole nga bakyalina amaani- Kabaka

Ali Mivule

April 13th, 2014

No comments

Kabaka's birthday

Ssabasajja kabaka akalaatidde abavubuka okufaayo okukolerera obukadde bwaabwe nga bakyasobola, nga kw’ogasse n’okukulembezanga obuganda mu buli kyebakola.

Buno bwebubade obubaka bwa ssabasajja eri obuganda, wakati mukukuza amazaalibwa ge ag’omulundi ogwa 59th.

Emikolo emikulu gibadde ku ssomero lye Gombe secondary , era nga gitambulidde ku mulamwa gwa bya njigiriza kko n’eby’obulamu mu baana.

Ssabasaja kabaka agambye nti abavubuka basaana okukola obutaweera nga bakyalina embavu , nga kwogasse n’okwewa ekitiibwa mu buli kyebakola.