Amawulire
Abavubuka bakubiriziddwa nti bakomye okulowooleza mu kuweebwa.
Bya Gertrude Mutyaba,
Abavubuka bakubiriziddwa nti bakomye okulowooleza mu kuweebwa.
Obubaka bubawereddwa Katikkiro Charles Peter Mayiga bwabadde aggalawo olusirika lw’abakulembeze babavubuka ba Buganda, olwakulungudde ennaku 3 mu kibuga Masaka.
Katikkiro agambye nti abavubuka basanidde okubeera abayiiya ennyo mu mirimu, lwebanakyusa obulamu bwabwe.
Owembuga ategezezza nga bwebagenda okuteeka essiira ku bavubuka n’abakyala naddala mu mirimo gy’okwekulakulanya.
Ssentebe wolukiiko lw’eby’ekikugu, Suuna Luuta ayanjudde ebiteeso 9 ebyayisiddwa mu ttabameruka ono.
Kuno kuliko; okukozesa emitimbagano mungeri eyamba abavubuka, okunoonya okumanya, okweyambisa ebirowoozo by’olusirika mu kubaga n’amutaayika w’abavubuka ow’emyaka 5, okunoonya okumanya okuva mu bitongole n’abantu ssekinoomu basobole okubangawo emirimo gy’okwekulakulanya nebirala.