Amawulire
Abavubuka basabye Gavt okubasonyiwa emisolo ku Makampuni
Bya Prossy Kisakye,
Abavubuka basabye gavumenti okwesonyiwa emisolo ku makampuni g’abavubuka bwebaba bakuganyulwa mu nkola ya Parish Development Model (PDM).
Omukiise w’abavubuka okuva mu kitundu eky’omu masekkati, Jackline Namutebi agamba nti dizayini ya PDM nga bweri leero eyinza obutabagasa singa baba bagenda kuvuganya n’amakampuni agasimba edda amakanda.
Demos Pariyo Agamba, okuva mu West Nile ategezeza nti amakampuni g’abavubuka mangi gagudde olw’emisolo eming egibabanikibwa.
Mu kiseera kye kimu abavubuka bayisizza ekiteeso ekisaba gavumenti okukulembeza enkola z’okukyusa ebyenfuna by’abavubuka nga bayita mu PDM nga baggumiza nti abavubuka beeraliikirivu nti tebeebuuzibwako ku nsonga za PDM.
Olutuula luno era lwayisizza ekiteeso abavubuka mwe baasabidde gavumenti okukulembeza enkola ez’okukendeeza ku buzibu obuva mu nkyukakyuka y’obudde.
Bino byabadde mu Palamenti y’abavubuka ey’eggwanga ey’okutaano eyabaddewo olunaku lw’eggulo mu Kampala.