Amawulire
Abavubuka bayooleddwa
Poliisi ekedde kulwanagana n’abavubuka abakedde okugumba ku kibumbe ky’obwetwaaze wali ku speke road nga bemulugunya ku bbula ly’emirimu mu ggwanga.
Bano babadde bakutte ebipande ebivumirira gavumenti gyebalumiriza obutabafaako.
Abasoba mu 10 bakwatiddwa nga bano babadde bakaalakaala ne sanduke y’abafu nga bakumye n’ekyooto okukungunbaga
Bino webigyidde nga abavubuka ababiri abaakukusa obubizzi okubuyingiza palamenti okuli Norman Tumuhimbise ne Robert Mayanja nabo olwaleero lwebadda mu kkoti ya City Hall maaso g’omulamuzi Elias Kakooza babitebye.
Bano bavunanibwa kusalinkiriza gyebattakirizibwa, okutataganya emirimu gya palamenti n’ekobaane okuzza omusango.
Baakwatibwa n’obubizzi obwa kyenvu 2 nga bagamba baali belaga butali bumativu ku buli bwenguzi obuwanise amatanga mu ggwanga.