Amawulire
Abavuganya balina kusimbawo omuntu omu okuwangula
Abavuganya basabiddwa okusimbawo omuntu omu bwebaba nga bakuwangula okulonda kwa 2016
Omubaka we Kalungu mu bugwanjuba Joseph Ssewungu y’abawadde amagezi gano ng’agamba nti okweyawula tekukyakola nga n’abantu bakooye akavuyo
Ssewungu agambye nti buli bavuganya lwebeyawula, bongera kufiirwa era nga ssinga bagaana okwegatta mu mwaka 2016, ebintu byandibalema
Ababaka ba palamenti okuva ku ludda oluvuganya gavumenti bagaala kusisinkana pulezidenti Museveni
Minisita akola ku byenfuna mu gavumenti erinze obuyinza Geoffrey Ekanya agamba nti pulezidenti alina bingi eby’okunyonyolako kyokka ng’asirise
Muno mwemuli ezikwata ku nguzi, eza ssabayekeera Dominic Ongwen n’ek’amaggye ga Uganda okubeera mu mawanga agatali gamu.
Ekanya agamba nti bagaala ensonga zino ziddibweemu omuli n’ey’enongosereza mu mateeka g’ebyokulonda
Bino bizze ng’ababaka ba palamenti bakalemesa omubaka Dr. Lulume Bayiga okukkirizibwa okukola ku bbago erinalambika engeri obukulembeze gyebukyukamu okwewala entalo