Amawulire

abavuganya batabukidde poliisi- Ezizza omuliro

Ali Mivule

March 31st, 2014

No comments

Kaihura at parliament

Poliisi esabiddwa okukoma okwekwaasa etteeka erifuga enkungaana kubanga terissibwanga mu nkola

Abavuganya nga bakulembeddwaamu owa DP Nobert Mao bagamba nti bakikakasizza nti minisita akola ku nsonga z’omunda mu ggwanga Gen Aronda Nyakairima tassa nga mu nkola tteeka lino.

Mao agamba nti tewaliiwo tteeka likugira nkungaana era nga poliisi ekolera wabweru wa tteeka

Ono abadde ayogera ku kya poliisi okuwera enkungaana z’abavubuka ezitali zimu mu bitundu bye Soroti, Mbale,Kasese ne Kabale.

Wabula bino byonna poliisi ebiwakanyizza ng’egamba nti emirimu egitambuliza mu mateeka era ng’abavuganya balina okugoberera amateeka