Amawulire
Abavuganya bategese enkungaana mu kibuga
Ng’akakiiko ke by’okulonda kakyakugugubidde ku ky’okutegeka okulonda kwa Meeya omuggya, bannakisinde ekya For Go and Country( 4GC) bategese okukuba enkungaana mu kibuga kampala , balabule abantu ku kabi akakirimu.
Bano bagamba nti bagenda kutabaala ekibuga nga babangula abantu nga mu kaseera kano baakutandikira katwe ku lw’okusatu ssabbiiti eno , webanaava boolekere Wankulukuku lunaku olwa Sunday
Loodimeeya wa kampala ssalongo Erias Lukwago akakasizza nti ekyokutegeka okulonda kimenya mateeka era kuba kuyisa lugaayu mu kkooti eyamuddiza offiisi ye kale nga kino balina okukirwanyisa nga bayita mu bantu
Ono yoomu agamba nti baamaze okufuna olukusa lwa poliisi, kale nga tebasuubira kubataataganya.
Bino byonna nga bigenda mu maaso, bbo banna NRM beetegeka kwedizza kifo kino , era nga baakwetaba mu kamyufu akadde konna berondemu anabakwatira bendera .