Amawulire
Abavuganya befunzizza omugenzi Metropolitan Lwanga
Bya Ivan Ssenabulya
Abavuganya gavumenti befunziza, abadde Ssabasumba waba Orthodox Metropolitan Jonah Lwanga.
Okuziika omugenzi Jonah Lwanga wetgerera nga kugenda mu maaso ku lutikko wa St Nicholas e Namungoona, nga kwetabiddwamu banadiini, abakulembeze abalonde okuva mu gavumenti nabavganya nemu bwakabaka bwa Buganda.
Akulira oludda oluvuganya gavumenti Mathias Mpuuga agambye nti ono abadde waabwe, era namusiika olwomulimu amakul gwakoze okuvumiriranga obutali bwenkanya mu gwanga.
Yye akulira ekibiina kya National Unity Platform Robert Kyagulanyi agambyee nti gusaanye gubeera mulimu gwabasigadde okukola byabadde akola.
Mungeri yeemu Inter Religious Council bakungubagidde omugenzi.
Ssentebbe wekibiina kino, ekigatta enzikiriza mu gwanga, Ssabalabirizi Dr Sameul Kaziimba Mugalu agambye nti omugenzi abadde abunyisa engiri eyemirembe nokutabagana.
Mu kiwandiiko ekyawamu kyasomye Dr Kaziimba agambye nti ajjukirwa nnyo olwokutuusa emirembe mu bantu be Kenya, bwebaali bagenda mu kulonda kwa 2021 nokubabagana oluvanyuma lwokulwanagana okwagoberera okulonda mu 2007.
Metropolitan Lwanga yafa nga 6 Sebutemba 2021, yafiira mu kibuga Athens, mu gwanga lya Buyonaani gyabadde ajanjabirwa.