Amawulire

Abavuganya gavumenti bagenda kutuula kuby’akediimo

Abavuganya gavumenti bagenda kutuula kuby’akediimo

Ivan Ssenabulya

October 5th, 2021

No comments

Bya Gertrude Mutyaba ne Prosy Kisakye

Ab’oludda oluvuganya gavumenti bagenda kutuula olwaleero, okusalwo ekiddako oluvanyuma lwakediimo kebalangirira.

Mu lukiiko luno bagenda kusalwo oba banagenda nako mu maaso oba nedda.

Wiiki ewedde, akulira oludda oluvuganya gavumenti Mathius Mpuuga, yakulemberamu babaka banne nebekandagga oufuluma palamenti oluvanyuma nebalangirira nga bwebazize entuula za palamenti.

Kino baakikola nga bawakanya ekyokuddamu okukwata babaka banaabwe owa Kawempe North Muhammad Ssegirinya nowa Makindye West Allan Ssewanyana.

Nampala wababaka bekibiina kya DP, omubaka we Tochi mu palamenti Peter Okot, akakasizza nti bayitiddwa mu lukiiko olwenjawulo olunaku olwaleero.

Olukiiko luno lugenda kwetabwamu na nampala beibiina, ba minisita mu gavumenti eyekisikirize nabakulembeze abalala.

Ono agambye nti ekyakolebwa wiiki ewedde, kyandiba nga kyavaamu ebibala kubanga, kati bannamateeka babavunaana babakiriza okulaba abantu baabwe.

Mungeri yeemu, omuwandiisi wa Kooti enkulu e Masaka Agnes Nkonge ategeezezza Puliida wababaka Muhammad Ssegirinya ne Allan Ssewanyana okuva mu Lukwago and Company Advocates okukomawo mu kooti olunnaku lwenkya okubabuulira ekiddako ku kusaba kwabwe okweyimirira abantu baabwe.

Ababaka bano bavunaanibwa emisango 7 okuli Obutemu, okugezaako okutta, obutujju n’okuvujjirira obutujju, nga kyekuusa ku butemu bwebijambiya e Masaka.

Munnamateeka Musa Matovu aleese okusaba okwokweyimirira, nga balambise ensonga 11 omulamuzi kwalina okusinziira ayimbule abantu baabwe bawoze nga bava bweru wa kkomera.

Wabula Omuwandiisi wa kooti enkulu abategeezezza ng’Omulamuzi wa Kooti enkulu e Masaka Victoria Nakintu Katamba bwamutegeezezza ku lukomo lw’essimu nti bakomewo olw’okusatu.

Wabula agambye nti omulamuzi amutegezezza ngwa bwayinza obutaba mweteefuteefu kuwulira kusaba kwabwe era yaandibasindika mu kooti enkulu ewuliriza emisango gya kalintalo eya War crimes division e Kololo.

Matovu agambye nti ba looya beteefuteefu okugoberera okusalwo kwomulamuzi kwonna kwanaaba akoze.