Amawulire
Abavuzi ba Taxi bakukulumye ku bisale bya EPS
Bya Prossy Kisakye,
Abavuzi ba taxi mu Kampala bavumiridde poliisi n’ekitongole ekiwoozo kyómusolo mu ggwanga ekya Uganda Revenue Authority (URA) olw’okukwata mmotoka zaabwe olw’amabanja gémpapula ezibakubwa aga Express penalties Scheme (EPS).
Wiiki ewedde ekitongole ekivunaanyizibwa ku bidduka n’obukuumi ku nguudo kyalangirira ekikwekweto ekipya eky’okulwanyisa abavuzi b’ebidduka abakyebuuzabuuza obutasasula nsimbi zino, era nekilayira obutadamu kubakuba bipapula wabula abanasangibwa nga bamenye amateeka bakukwatibwa batwalibwe mu mbuga za mateeka.
Muhammad Ssempijja, omuvuzi wa takisi era omukulembeze ku Namayiba Taxi Park agamba nti beetegefu nnyo okusasula amabanja ga EPS kyokka mu kiseera kino embeera si nnungi olw’ebbeeyi y’ebintu ebikozesebwa mu bulamu obwabulijjo n’amafuta okubeera waggulu.
Agattako nti olwaleero baddereeva bangi bapakinze emmotoka zaabwe mu bugenderevu awaka kubanga batya okukwatibwa olwóbutaba na ssente za kusasula