Amawulire
Abawabuzi ba Kkooti basabye
Bya Ivan Ssenabulya,
Abawabuzi ba kooti, bayite ba Court Assessors mu musango oguvunanibwa eyali omuyizi agambibwa okutta eyali mugazi we, bwebaali basoma basabye omulamuzi wa kkooti enkulu e Mukono agusingise Mathew Kirabo.
Kirabo yali asoma busawo ku ssetendekero e Makerere, kigambibwa nti yatta Desire Mirembe nga 11 mu July wa 2015, omulambo gwe nagusuula mu bikajjo e Lugazi mu disitulikiti ye Buikwe.
Robert Sseguya ne Grace Nakandi abawabuzi ba kkooti bawadde endowooza yaabwe, nga besigama ku bujulizi obuzze buweebwa mu kuwuliriza omusango guno, nebagusaliraomuvunaanwa.
Mu bujjulizi bwebesigamyeko mwemuli obwa Askari eyali akuma ku hostel, ngono yategeza nga Kirabo bweyanona omugenzi weyali asula nebula teyaddamu kulabwako atenga kigambibwa nti baalinamu obutakaanya.
Waliwo nobujulizi bwomusawo, Dr Julius Kizito eyakebera omulambo nga yajulira mu kkooti nti baamufumita mu bulago era yali tayinza kuwona nekyokuba nti omuvunaanwa yabulawo ng’omusango guno gugenda mu maaso kiraga nti yaguzza.
Ttaata w’omugenzi Emmanuel Musoke ayogeddeko naffe nategeza nga bwebalindiridde ennamula ya kooti okuva eowmulamuzi Hnery Kaweesa.
Frank Gashumba, mukwano gwa famile y’omugenzi nga naye abadde alondoola nnyo omusango guno asabye gavumenti nti batekemu amanayi Kirabo akwatibwe okusobola okutekawo obwenkanya.
Omulamuzi Henry Kaweesa ataddewo olunnaku olwanga 30 May omwaka guno 2022 lwanawa ensala ye ku musango guno.