Amawulire

Abawadde obutwa

Ali Mivule

November 11th, 2014

No comments

Poliisi ye  Butenga mu disitulikiti ye   Bukomansimbi  eriko omukazi  ow’emyaka 40 gwekutte lwakuwa bantu 30 obutwa.

 

Dativa Nabatanzi omutuuze we  Kagoggo y’awatiddwa  lwakulunga bulukuumi  mu mmere n’agiwa abalokole b’ekanisa ya  Mukama Bwebutukirivu Bwaffe.

Wiiki ewedde  abagoberezi 30 baddusibwa mu ddwaliro ly’e Masaka  nga bali bubi oluvanyuma lw’okulya emmere erimu obutwa nga era poliisi ebadde ku muyiggo gw’omukyala ono.

 

Poliisi ekutte Nabatanzi  oluvanyuma lw’okutemezebwako omu ku batuuze eyamulaba ku lunaku lweyalunga obutwa buno.

 

Omu ku bananyini kanisa eno  Teddy Nalugo agamba Nbantanzi nga mulirwana ne kanisa yaabwe azze agulumba nabo teyasanyukira kya kanisa kugula ttaka lino nga era yali abalemesa n’okuzimba e kanisa .

 

Omwogezi wa poliisi mu bitundu bino  Noah Sserunjoji akaksizza okukwatibwa kwa Nabatanzi nga era wakuyamba poliisi mu kunonyereza kwayo.