Amawulire
Abayekera ba ADF basse abayizi 25 e Kasese
Bya Joel Kaguta,
Abayekera ba ADF bakoze obulumbaganyi kusomero lya Lhubirira ss erisangibwa e Mpondwe mu disitulikiti eye Kasese nebatta abayizi 25 nábabala bangi basigadde ku bisago.
Obulumbaganyi buno okusinzira ku poliisi bukolebwa ku ssaawa nga taano ezekiro kya leero.
Abayekera ba ADF basoose kutta mukuumi wa ssomero lino noluvanyuma ne bayingira ne bokya ekisulo ky bayizi ne batwala ne mmere ya bayizi ebadde mu masitoowa.
Essomero lino lisangibwa km nga 2 okuva mu nsalo ya Democratic Republic of Congo.
Emirambo gyábayizi gitwalibwa mu ggwanika mu ddwaliro lya Bwera e Kasese.
Poliisi egamba nti abalumbaganyi 8 nabo bakosebwa era bali mu ddwaliro lya Bwera Hospital mu mbeera mbi.
Kati poliisi ngeri wamu ne ggye lye ggwanga erya UPDF batandise okulondoola Abayekera abadduse mu ddundiro lye bisolo erya Virunga national park.
Abazadde abalina abaana musomero lino bakubirizibwa okutandika okunonya amawulire ku baana babwe okulaba embeera mwebali eri aba abasobodde okusimatuka obulumbaganyi.
Poliisi esaasidde abazadde bonna abafiiridddwa abaana babwe mu bulumbaganyi era egamba nti yakufulumya amawulire amalala kunsonga eno.