Amawulire
Abayimbi basanyukidde okugobwa kwa Wasula
Bya Prosy Kisakye
Ekibiina ekigatta abayimbi wansi wa Uganda musician association nga bakulembeddwamu presidenti waabwe Sophie Gombya bawagidde ekyokuwmmuza abakungu 2 abekibiina kya Uganda Performing Rights Society (UPRS).
Olunnaku lwe ggulo ekitongole kya Uganda Registration Services Bureau (URSB) kyawumuzza ssenkulu wa UPRS James Wasula nomukwasisa wamateeka Dickson Matovu basooke banonyerzebweko, ku bigambibwa nti babaddenga babulankanya ssente zabayimbi.
Kati Sophie Gombya agambye nti essanyu balina lya mwokyi wa goonja, era ekyo kyebabaddenga balajanako okumala ebbanga, nti ekitongole kino tekisasula bayimbi.
Kati Kabiito Karamagi ne Rita Baguma Birungi okuva mu kitongole kya Ligomarc Advocates bebalondeddwa okujira nga bakulembera UPRS.