Amawulire

Abayimbi Ne’banna Katemba Bawereddwa Emidaali Gyo’buzira

Ivan Ssenabulya

June 10th, 2017

No comments

Bya Ivan Ssenabulya

Mu bantu abasoba mu 300 abawereddwa emidaali olunnaku lwe ggulo ku mikolo gyabazira be gwanga, abayimbi abamu basimiddwa nebanakatemba olwobuwereza bwabwe eri egwanga era nebalangirirwa ngabazira.

Kuno kubaddeko Presidenti wabayimbi Andrew Benoni Kibuuka, munnakatemba Abbey Mukiibi, Kato Lubwama Paul, Charles James Ssenkubuge nabayimbi ba Kadongo Kamu, okubadde Lord Fred Ssebatta, abagenzi Christopher Ssebadduka, Haman Basudde nabalala.

Kati omukwanaganya wekibiina ekigatta abayimbi mu gwanga nabategesi bebivvulu Tonny Ssempijja  akulumyemu olwabayimbi abamu ngo’mugenzi Kasozi abalekeddwa ebbali songa bakola kinene mu lutalo okulwanyisa nawokera wa siriimu.