Amawulire

Abayizi 25 bebakakwatibwa Ebola mu ggwanga

Abayizi 25 bebakakwatibwa Ebola mu ggwanga

Ivan Ssenabulya

November 8th, 2022

No comments

Bya Damali Mukhaye, Minisitule eye byenjigiriza etegezeza nga abayizi 23 bwebakwatibwa ekirwadde kye Ebola.

Mu kwogerako ne bannamawulire mu kampala, Minisita omubeezi owe byenjigiriza ebisookerwako, Joyce Kaducu agambye nti abayizi 8 baafa, 5 bawona ate 16 bakyetegerezebwa.

Bano baava mu masomero aga KCCA mu kampala, e Wakiso ne Mubende.

Mu kawefube wokulwanyisa ekirwadde kye Ebola mu masomero, Ministry y’eby’enjigiriza era ekakasizza nga abayizi bonna mu gwanga bwebajja okugenda mu luwummula olufundikira omwaka nga 25 omweezi guno.

 

Minister era ategeezezza nga bwebagenda okukolaganira awamu n’abavunanyizibwa ku by’entambula, okugunjawo ebiragiro ebigenda okugobererwa ku lunaku lwa nga 25 abaana bwebanaaba bazzibwa awaka.

 

Minisiter era alagidde abaamasomero okwanguyirizaako okutuuza abayizi ebigezo olunaku lwokuwumula lusange nga bamaliriza.