Amawulire
Abayizi abasoba mu mitwalo 37 tebaweereddwa bifo mu siniya
Bya Damali Mukhaye,
Abayizi abawera emitwalo 37 mu 1,143 abayita ebigezo byabwe okwegatta ku siniya esooka ne yókutaano omwaka ogujja tebafunye bifo mu masomero ga gavt nagobwannanyini.
Kino kidiridde mu kusunsula abayizi okubadde kugenda mu maaso ku kisaawe ekololo okwetabidwamu amasomero agasuka mu 2,000 okuggwa nga bano tebawereddwa bifo.
Mu kufundikira okusunsula sentebe wa kakiiko akasunsula abayizi okuva mu minisitule eye byenjigiriza Benson Kule abayizi emitwalo 60 bokka bebawereddwa ebifo
Abayizi emitwalo 65mu 9,910 bebayita ebigezo bya PLE ate abayizi emitwalo37mu 1,143 ne bayita ebya UCE ebyakolebwa omwaka oguwedde nga bonna babadde balina okweyongerayo ne misomo gyabwe ekitasobose.
Wabula Kule, agamba nti abatafunye bifo bakwegatta ku matendekero agebyemikono, agobwanaansi neri amasomero amalala agatetaba mu kusunsula kuno.