Amawulire
Abayizi be Kyambogo bazzeemu okwekalakaasa
Poliisi ekozesezza omukka ogubalagala okugugumbulula abayizi be Kyambogo abakedde okuddamu okwekalakaasa.
Abayizi bano bavudde mu mbeera oluvanyuma lw’okusanga ng’amannya gaabwe tegali kw’ago ag’abagenda okutikkirwa olunaku lw’enkya.
Abayizi bano bategeezezza nga bwebamalayo ebisale byonna kyokka nga kibaweddeko okusanga nga tebassiddwa ku lukalala olusembayo.
Abantu ku betwogeddeko nabo bali ku nkola ya gavumenti naye nga nabo tebagenda kutikkirwa.
Wabula yye omwogezi w’ettendekero lino , Lawrence Madete alumiriza nti abayizi bano babanjibwa
Bino bibadde ng’akulira ettendekero lino okuggya atuuzibwa
John Sebuufu y’azze mu kifo kya Eric Adriko abadde ssenkulu.