Amawulire

Abayizi B’E Makerere Bazzemu Okwekalakaasa

Ali Mivule

July 14th, 2014

No comments

muk studennts

Poliisi n’abayizi b’eMakerere bali balwanaganye  oluvanyuma lw’abayizi okugezaako okuggalawo ettendekero nga bawakanya eky’okwongezebwa kw’ebisale eri abayizi  abapya n’ebitundu 10%.

Bano bakulembeddwamu abakulira Ivan Bwowe nga era ssibamativu olw’abasomesa baabwe okulemelerwa  okubalambula  gyebatendekebwa mu makampuni agenjawulo ku Internship.

Bano bagamba nti baasasula emitwalo 60 buli omu  okusobozesa abasomesa bano okugenda gyebatendekebwa balabe byabakola wabula tebalabako yadde noomu

Wabula ye akulira ebikwekweto bya poliisi  mu bukiika ddyo bwa  Kampala Afande Sam Omala anenyezza abakulira ettendekero lino okunyigiriza abayizi bano nga basuubira poliisi okutebenkeza embeera bweba ekyankalanye.