Amawulire

Abayizi b’eKyambogo bagaanye ekyokuwera ensawo

Abayizi b’eKyambogo bagaanye ekyokuwera ensawo

Ivan Ssenabulya

November 4th, 2021

No comments

Bya Damalie Mukhaye

Abayizi ku ttendekero lye Kyambogo bawakanyizza ekiragiro ekyayisiddwa abatwala ettendekero, nga bagaana ensawo munda mu bibiina omusometrwa.

Abayizi bagamba nti tebakakasa bukuumi ku nsawo zaabwe yonna gyezinasigala.

Abatwala ettedekero lye Kyambogo balagidde abayizi okuyingira mu bibiina na bitabo na bile byokka, mungeri yowongera obwerinde ku bikolwa ebyobutujju.

Tony Butaha, nga muyizi mu mwaka owokusattu agambye nti kijja kubeera kizibu okumala galeka ebintu byabwe ebyomuwendo okuli ne laptop mu nsawo, byandibbibwa.

Ate Mily Nabulo, nga naye muyizi mu mwaka ogusooka agambye nti ngabayizi abawala balina ebintu byebakumira mu nsawo okli ebisabika nga bekoonye akagere kalenga kibeera kizbu okutakwata nsawo.

Wabula myuka ssnekulu we Kyambogo Prof Eli Katunguka agambye nti abayizi batekeddwa okukwata ebyo byokka byebetaaga, mu lunnaku olukedde.