Amawulire
Abayizi b’embuto batudde ebigezo
Abayizi b’ekibiina ky’omusanvu bafundikidde ebigezo byaabwe olunaku lwaleero .
E Kasese, abayizi abawala abaali bafumbirwa edda nga n’abamu bali mbuto bavudde gyebabadde nebagenda okukola ebigezo
Akulira abalondoola amasomero e Kasese Ernest Thabugha agamba nti abawala abali embuto 10 ne bannakawere bataano beebatudde ebigezo mu ssaza kye Busongora.
Ebitundu ebisinze okukosebwa kwekuli ekye Maliba, Bwesumbu ne Buhuhira .
Thabugha alambudde ebifo ebyenjawulo awabadde ebigezo, agambye nti abawala bano bakoze ebigezo nga tebasanze buzibu bwonna.
Bannakawere bakkiriziddwa okujja n’abaana baabwe era ng’obwedda bakkirizibwa okubayonsa
Ate ku ssomero lya Luhiri primary school omuyizi ow’emyaka 14 addusiddwa mu ddwaliro nga biwala ttaka bw’abadde agezaako okujjamu olubuto.
Omwana ono kigambibwa okuba nti yamira eddagala erijjamu olubuto ku Sunday nerugaana okukkakkana nga bigweredde mu ddwaliro
Akulira eby’ebyenjigiriza e Kasese George Mayinja agambye nti yadde bino bwebibadde ebigezo bitambudde bulungi.