Amawulire

Abayizi ebya S4 bacacanca

Ali Mivule

February 26th, 2014

No comments

students

Nga abaana abakoze obulungi mu bigezo bya siniya eyokuna bakyagenda maaso bakyajaganya, omu ku bayizi abasasulirwa kampuni ya Daily Monitor Judith Nalwago akyakyankaya olw’okufuna obubonero 8 mu massomo 8ku ssomero lya St Mary’s college Namagunga..

Nalwoga atenderezza nyo kampuni ya  Monitor publications limited olwokumusasulira fiizi era naye natabaswaza.

Akola ku nkolagana y’abantu ne company eno omuli nekona eno aya monitor bus program Jacky Tahakanizibwa ategezezza nga bwekiwa essanyu okulaba omu ku bayizi bebaweererea akoze bulungi era bakwongera okusa ensimbi mu baana nga bano okutuusa nga bamalirizza siniya ey’omukaaga.

Enkola ya The monitor bus program yatongozebwa mu 2010 nga eyamba bana abasukuluma ku banaabwe ,era   nga Nalwoga yomu ku basooka okuganyulwa mu nteekateka eno.