Amawulire
Abayizi ku ddaala lya A-level bakusomera emyaka 5
Bya Damali Mukhaye,
Abayizi okwetoloola eggwanga abagenda ku mutendera gwa A-level bakusomera ebbanaga lya myaka 5 singa kaliculamu empya erimu bubage gavumenti egiyisa.
Mu kusooka abayizi babadde basoma A’level nga ye siniya eyokutaano ne yomukaaga okumala ebbanga lya myaka 2 noluvanyuma ne bagenda ku university.
Okusinziira ku nnongoosereza eziteeseddwa mu nsoma y’omutendera gwa A’, ekiseera ky’okubeera ku ddaala lya A’ kigenda kuba kya myaka 5 okutumbula okuyingiza abayizi bonna.
Mu mboozi ey’akafubo ne Kfm, Deputy Director okuva mu kitongole kye byensoma ekya Curriculum Review and Instructional Materials development mu NCDC, Dr Bernadette Nambi abakwatibwako ensonga eno bakyakubagana empawa ku myaka emeka abayizi gye balina okumala ku a-level abamu bagamba 4 ate abalala 5.
Abayizi ababa bagudde amasomo agamu bakuweebwa omukisa okugaddamu naye nga tebazeemu kibiina kyonna.