Amawulire

Abazadde abamu ku matikkira gábayizi e Makerere batudde ku ttaka

Abazadde abamu ku matikkira gábayizi e Makerere batudde ku ttaka

Ivan Ssenabulya

February 17th, 2023

No comments

Bya Damali Mukhaye,

Abakulira yunivasite y’e Makerere bannyonnyodde akavuyo akabadewo kumukolo gw’okutikkirwa gaabwe age 73, ekyawalirizza abazadde okulaba ng’abaana baabwe nga batikkirwa naye nga bbo tebalina wakutuula okugyako okutuula ku ttaka.

Olunaku lw’eggulo abayizi kigambibwa nti baleese abagenyi abasuka mu babiri ababalagibwa ekyaviriddeko abazadde abamu okubulwa awokutuula ne batuula ku ttaka.

Abayizi abakola ebyobusuubuzi ne bazadde babwe bebasinze okukosebwa mu kino.

Okusinziira ku mateeka, buli muyizi agenda okutikirwa akkirizibwa okuleeta abazadde babiri bokka ate abamu kyebanyomoodde.

Omumyuka wa Ssenkulu wa Yunivasite eno Prof Barnabas Nawangwe ebbula ly’entebe yabutadde ku bayizi olw’okujja n’abagenyi ab’enjawulo abataayitiddwa.

Omu kubazadde perina nassolo naye yakakasiza nti kituufu omwanawe yazze na bagenyi 4.

Amatikkira agatandika ku Mmande gaggwa leero ng’abayizi okuva mu ssomo ly’oby’obuntubulamu ne bayinginiya.