Amawulire
Abazadde abetaba ku mbaga z’obufubo bwabato baakukwatibwa
Bya Juliet Nalwooga
Wofiisi ya Ssabawaabi wa gavumenti eriko file z’emisango amakumi 40, zebayise okwetegereza nga gyekuusa ku kukabawaza abaana abatenetuuka mu bikolwa byomukwano.
Emisango gino gyamu January omwaka guno, 2022.
Kino kibikuddwa Agnes Igoye, amyuka ssentebbe owa National Prevention of Trafficking in Persons office ekitongole ekirwanyisa eokukusa abantu wansi wa minisitule ye yensonga zomunda mu gwanga.
Bwabadde ayogera ne bannamwulire ku kitebbe kya poliisi e Naguru, Igoye agambye nti amaanyi bagenda kugateeka ku bazadde abafumbiza abaana abato nabamu nebetaba neku mikolo gyembaga.
Agambye nti batandise okubakwata, nganokoddeyo disitulikiti ye Kabong, ebikolwa bino gyebyongedde olwabazadde abawaayo abaan babawe basobole okufuna ente.