Amawulire

Abazadde balabudde abasomesa abali mu kwekalakaasa

Abazadde balabudde abasomesa abali mu kwekalakaasa

Ivan Ssenabulya

June 28th, 2022

No comments

Bya Abubaker Kirunda,

Abazadde mu masomero ga gavt 4 mugombolola ye Kitayundwa mu Kamuli, bawadde abasomesa lunaku lwankya lwokka okudda mu bibiina basomese abayizi oba sikyo bakwejusa.

Amasomero agogerwako kuliko Btende, Nabigongerya, Butelimira and Namisambya gonna ga pulayimale.

Abazadde ababadde abakaawu nga balkulembedwamu David Muyinda, bagamba nti abasomesa bano balya sente za gavt mu biseera bya covid okumala emyaka 2 eggwanga nga liri mu muggalo bwebasigala nga bafuna omusaala yadde nga baali tebasomesa kyokka kati bali mu kwekalakaasa

Abazadde bano kati basabye abasomesa abali mu kwekalakaasa olw’omusaala omutono okulekulira emirimu gyabwe bwebaba tebasobola kusomesa nga bwebasaba gavt okukola kunsonga zabwe.

Muyinda agambye nti nabasomesa bonna abasula mu kunyumba ze ssomero bakukakibwa okuzivaamu.

Wabula abakulembeze mu kibiina omwegatira abasomesa mu ggwanga ki Uganda National Teachers’ Union basabye abasomesa obutawuliriza mulanga gwa bazadde basigale mu kediimo kati akayingidde ssabiiti eyokubiri.

Mungeri yemu abasomesa ba gavt e Jinja South Division bajemedde banabwe ne badda mu bibiina okusomesa abayizi.

Akolanga akulira ebyenjigiriza mu kibuga kye Jinja Amina Mutesi yebaziza abasomesa abagondedde gavt ne bakwata ennoni okusomesa abayizi.