Amawulire
Abaziggu basse omukuumi kusundiro ly’amafuta e Mubende
Bya Gertrude Mutyaba,
Abazuggu abatanategerekeka balumbye esundiro lyamafuta erya Bamukisa filling station e Kalonga mu district ye Mubende ne babba era nebaleka nga n’omukuumi wesundiro lino attidwa mu kiro ekikeseza olunaku olwaleero.
Okusinzira ku batuuze obulumbaganyi buno bwabadewo nga obudde bukya wakati wa saawa kumi n’emu olwaleero, nga abalumbaganyi bano bakozeseza enyondo okutta omukuumi.
Abatuuze era bemulugunyiza ku poliisi gye balumiriza nti yaludewo okutuuka amangu ddala nga bakajikubira essimu nga nobukuumi ku kitundu kyabwe tewali olwobutaba na police ebali okumpi.
Ebintu okuli ensawo zemwanyi, ensawo za kasooli wamu ne pikipiki byebyabbidwa mu kifo kino.
Kinajukirwa nti wiiki ewedde abazigu b’emmundu baalumba edduuka ly’omuggaga mu kitundu kino emisana nebakuliita n’ensimbi ezisoba mu bukadde 100 nga ne kumulundi guno enjege egudde kinya nampiidi.