Amawulire

Abazigu babayodde

Ali Mivule

March 12th, 2014

No comments

thugs arrested

Poliisi ekoze ekikwekweto e Wandegeya n’eyoola abagambibwa okuba abazigu 31

Abakwatiddwa kigambibwa nti babadde bakozesa ebiragalalagala mu bitundu bye Katanga, Kikoni ne Kagugube zone.

Abantu bano kigambibwa okuba nti babadde baduumirwa Ronald Kiggundu

Aduumira ebikwekweto e Kawempe Celestine Tukahirwe agamba nti abavubuka bano betegeka bulungi era nga banyaze abawera

Bano beewanye okusooka okunywa enjaga olwo nebabba bulungi nga tebaliiko nsonyi