Amawulire
Abazigu balumbye essinzizo
Poliisi e Lyantonde eli ku muyiggo gw’abazigu ba nkuyege tetya ssabo abalumbye kkanisa nebakuulita n’ebirabo
Ekibinja ky’abazigu bano kyalumbye eklezia ya Kijukizo Parish nebatwaala emizindaala, engoma, evviinyo n’ebirabo nga byonna bibalirirwaamu obukadde mukaaga
Bwanamukulu w’ekigo kino Rev. Fr. Venasio Kivumbi agambye nti kibaweddeko bwebaguddewo enkya ya leero nga balaba Eklezia nkalu
Omwogezi wa poliisi mu bitundu bino Noah Sserunjogi agambye nti poliisi ekyayigga abantu bano era bakuvunaanibwa amangu ddala nga bakakwatibwa
Obubbi mu masinzizo bweyongedde mu masinzizno nga ne Lwengo waliwo ababba ebintu bya kkanisa ebibalirwaamu obukadde musanvu