Amawulire
Abaziikibwa mu kirindi bakebejjebwa nkya
Abasawo abakugu mu kwekebejja emirambo okuva mu ddwaliro e Mulago basuubirwa e Bundibuggyo olunaku lw’enkya okwekebejja emirambo egiri mu ntaano y’ekirindi
Kiddiridde abatuuze okugwa ku ntaano ezaazikibwaamu abantu ekirindi za mirundi esatu nga zino zirimu abantu abali wakati we 10 ne 15
Ebikwata ku bantu bano tebinnamanyika
Amaggye ggo gakkirizza dda okuziika abantu abawerera ddala 55 mu ntaana y’ekirindi era ng’abatuuze bagaala wabeewo okunonyereza ku nsonga eno.
Aduumira poliisi y’obugwanjuba, Thomas Kasimo agambye nti ekibinja kino kyakutuuka e Kasese olunaku lw’enkya era nga wano webagenda okutandikira okuyiikula entaana zino okulaba nti emirambo gyonna gyetegerezebwa