Amawulire
Abazungu bafiiridde mu kabenje
Abazungu babiri nga bannansi b’eggwanga lya Australia bafiiridde mu kabenje k’emmotoka akagudde ku luguudo oluva e mubende okudda e mityana
Akabenje kano kagudde ku kyaalo Kisekende mu kafo akamanyiddwa nga Minzaani kilomita nga 3 ng’ova mu kibuga Mubende.
Abazungu bano abatannaba kutegerekeka mannya babadde batambulira ku pikipiki ey’ekika kya B M W nga bava kampala okudda e fort portal ne bakonagana ne motoka kika kya Land cruiser no UAN 642 T ebadde eva efort portal ng’edda e Kampala bombi nebafiirawo.
Akulira poliisi y’ebidduka e mubende Alex Mulamuzi akakasizza akabenje kano k’agambye nti kavudde ku kuvugisa endiima.
Emirambo poliisi egitutte mu ddwaliro e Mubende okwekebejjebwa nga n’okunonyereza ku kivuddeko akabenje kano bwekugenda mu maaso.