Amawulire

Abe Kasese baddukiriddwa

Ali Mivule

August 14th, 2014

No comments

Kasese-floods-hospital

Olukiiko lwa ba minisita liyisizza obuwumbi 39 okuyambako okuzza obuggya ekitundu kye Kasese ekyataagulwa amataba

Mu mwezi gw’okutaano omwaka guno, amataba gaalumba abe Kasese okukkakkana nga gasanyizzaawo eddwaliro, amasomero  n’enguudo

Omwogezi wa gavumenti Rosemary Namayanja agamba nti ensimbi zino zigenda kuyamba abantu okuva mu magombolola asatu okuli erye Nyarumba, Nyamwamba, ne Maliba.