Amawulire
Abe Kibuli bazzeemu leero okusoma
Abayizi b’essomero lya Kibuli secondary school badda leero ku ssomero oluvanyuma lw’omuliro okukwata ekimu ku bisulo byabwe wiiki ewedde.
Wiiki ewedde omuliro gwasanyizzaawo ebintu by’abayizi abasoba mu 100 ekyawalirizza abakulira essomero lino okubalagira okugira nga badda ewaka.
Akulira essomero lino Ibrahim Matovu agamba embeera esubirwa okudda munteeko nga era abayizi bakuddamu okusoma amangu ddala.
Matovu agamba abakulira essomero n’abazadde bakugabana ebayizi byebafiiriddwa mu muliro guno.