Amawulire

Abe Kireka bagenze mu palamenti

Ali Mivule

August 1st, 2014

No comments

evictions

Ekibinja ky’abantu abasengulwa ku luguudo lw’eggaali y’omukka e Kireka kyekubidde enduulu eri palamenti nga bagaala eyimirize eky’okubasengula.

Ku ntandikwa ya ssabbiiti eno, KCCA yatandika okusengula abantu okuva mu luguudo lw’eggaali y’omukka mu bitundu bye Namuwongo, Ndeeba, Nalukolongo ne Kireka mu kawefube w’okwetegekera eggaali y’omukka enatambuza abantu.

Abatuuze bano bakulembeddwaamu Monica Wanana, Sharif Nyamayabo ne Emmanuel Ssebuufu njebategeeza nga bwebandisoose okwebuuzibwaako gavument nga tennapapiriza kubasengula.

Kyebagaala kwekusooka okusasulwa nga tebannagobanyizibwa