Amawulire
Abé Koome basonze ku bibasibyeko Mukenenya
Bya Kiguli Diphus,
Abatuuze abawangalira mu bizinga bye Koome mu district ye Mukono basonze ku bivirako obulwadde bwa mukenennya okweriisa enkuuli mu bitundu byabwe.
Bano nga bakulembeddwamu ssentebe w’eggomboloola eno Lawrence Kiyingi bagambye nti abavubuuka abasinga ensangi zino tebalina byakola okwo nga kwogase n’okwesiiwa amagengere kko n’abakyala abetunda okweyuuna ebitundu by’ebizinga zezimu ku nsonga ezisibye nawokera wa siriimu mu bitundu bino.
Omubaka wa Mukono South mu lukiiko lw’eggwanga olukulu Fred Kayondo bano abasabye okwongera okwekuuma n’okutwala obulamu nga bwamugaaso
mungeri yemu, Ekibiina kya Uganda Federal Alliance kisabye gavumenti okwongera amannyi mu lutalo lw’okulinnya ku nfeete ekirwadde kya mukenennya naddala singa ekirubirirwa kyaayo ekya 2030 kibeera kyakutukirira.
President w’ekibiina kino Charles James Kizito agamba nti kyenyamiza okulaba nti abamu ku bagabi bobuyambi ababadde bayamba eggwanga mu kulwanyisa mukenenya babijjamu enta.
Agamba nti embeera eno eteeka eggwanga mu matigga era nekirubirirwa ky’okukomya abantu okufuna siriimu mu mwaka gwa 2030 nekisigala mu lusuubo bw’otunulira obudde obusigaddeyo.
Ono asabye gavumenti okulowooza kukyokukendeeza ku mbalirira z’ebitongole naddala ng’amaggye ensimbi zongerwe mu kisaawe ky’eby’obulamu.