Amawulire
Abe Kyambogo beekalakaasizza
Abayizi mu ttendekero e Kyambogo bavudde mu mbeera nebekalakaasa.
Kivudde ku bayizi abagambibwa okuba basasula ebisale byonna naye ng’amannya gaabwe tegali ku lukalala.
Abyizi bano abamu bategeezezza nga bwebagenda okugenda mu kooti okusaba nti okutikkirwa kw’abayizi kuyimirizibwe okutuusa ng’ebitategerekeka biweddewo.
Akulira abayizi, John Mugabi agamba nti mu masomo agamu, abayizi batono ddala abakakasiddwa okutikkirwa kyokka nga bamalayo ebisale byonna
Wabula omwogezi w’ettendekero Lawrence Madete agamba nti ensonga z’abayizi zino bazitunulamu kyokka ng’abamu mu butuufu tebamalayo bisale.