Amawulire
Abe Makerere bazzeemu okwekalakaasa
Abayizi b’emakerere balumbye ekizimbe ewatuula abamu ku batwala ettendekero lino ekya Senate nebakyankalanya olukiiko lw’abakulira ettendekero lino ababadde bakuuta amabaluwa g’abayizi abapya nga fiizi zongezeddwa n’ebitundu 10%.
Wowulirira bino nga ebikumi n’ebikumi by’abayizi bano bagumbye ku kibangirizi kya Freedom Square nga balaalise okweteeka mu ddene okutuuka ku palamenti singa ssabapoliisi w’eggwanga ne minisita w’ebyenjigiriza tebogerako gyebali mu ssawa emu.
Akulira abayizi bano Ivan Bwowe akulembeddemu banne okuwakanya eky’okwongeza ebisale n’ebitundu 10% era baweze nti ssibakukikiriza.
Wabula poliisi ebalabukiridde mangu nebagumbulula.
Tukitegeddeko nga ne ssenkagale wa poliisi Gen Kale Kayihura bwatanasisinkanamu bayizi bano