Amawulire
Abe Mukono b’emulugunya ku mbwa
Bya Ivan Ssenabuylya
Abatuuze ku kyalo Nsambwe A mu kibuga Mukono balajanidde abo’buyinza okubataasa ku mbwa ezitayaaya ezandibatusaako obulabe.
Bino babyanjulidde mu kukiiko lwe kyalo okutudde nebasaba abakulembeze aba waggulu babayambe.
Wabula ssentebe wa Mukono Central Division Jamir Kakembo asubizza nti bali mu ntekateeka okutta embwa mu kibuga.