Amawulire
Abe Mulago balemereddwa okukkanya nebebabuliza omwana
Gavumenti eremereddwa okutuuka ku nzikiriziganya ne bazadde abaabulwako omu ku balongo baabwe mu ddwaliro ekkulu e Mulago.
Ssabawolereza wa gavumenti abadde asuubirwa okutegeeza kkooti ssente meka zebagenda okuliyirira abafumbo bano wabula tekisobose.
Omulamuzi wa kkooti enkulu Lydia Mugamba katyi alagidde okuwulira omusango guno kutandike nga era maama w’omwana y’asoose okuwa obujulizi.
Abafumbo bano nga bayita mu kibiina ekirwanirira eddembe ly’obuntu ekya Health Human Rights and Development baakuba eddwaliro ekkulu ery’ e Mulago mu mbuga z’amateeka lwa mwana waabwe kubula nebabategeeza nti y’afa wabula olwakebera mu nkola ye ndagabutonde emanyiddwa nda DNA nebakizuula nti omulambo ssi gwabwe.