Amawulire
Abe Mulago bewozezzaako ku mwana
Eb’eddwaliro lye Mulago balumirizza abafumbo abagamba nti baacanze omwana waabwe okubeera abalimba era abeenonyeza ebyaabwe
Nga boogerako eri bannamawulire, abe Mulago bategeezezza ng’omukyala ono bweyasindikibwa abe kawaala abaali bamulemereddwa kubanga omwana yali amaze okufa.
Ono kigambibwa okuba nga bweyatuuka e Mulago yakolebwaako era nebamutegeeza nti baali bataasa bulamu bwe kubanga omwana yali yafudde dda.
Akulira eddwaliro lye Mulago, Dr Baterana Byarugaba agambye nti obuzibu bwonna bwaava ku taata w’omwana eyatandikirawo okwecwacwana ng’ategedde nti omwana waabwe afudde era okukkakkana ng’aggyeewo mukyala we nga tebafunye na bbaluwa ebasiibula.
Abafumbo okuli Fred Sande ne Lovinsa Atwongire balumiriza abe Mulago okubawaamu omwana omufu nga bagamba nti owaabwe bazaala mulamu.
Byarugaba agamba nti abafumbo bano balina ebigendererwa byaabwe byabatannategeera kyokka nga balina obujulizi bwonna okuva e Kawaala.
Wabula bbo bakadde b’omwana ono balumiriza nti omwana waabwe yacuusiddwa era batubuulidde ng’ebintu bwebyaali