Amawulire
Abe Sese bagaala kwekutula ku Buganda
Ng’ebitundu ebitali bimu byongera okusaba okwetongola, n’abasese bagaala kwesala ku Buganda.
Akulira abasese Bijwenge Bukulu Kasirye agamba nti bamaze okuwandiikira pulezidenti Museveni ne minisita akola ku nsonga z’ekikula ky’abantu nga babategeeza ensonga zaabwe
Kasirye agamba nti tebassangako mukono ku ndagaano ne Bungereza kale nga balina okubeera nga beetongodde
Bano okusaba bakukozesa nga kati myaka 100 nga batambulira wansi wa Buganda.