Amawulire
Ab’e West Nile bajjukizza omukulembeze w’eggwanga ku bisuubizo
Bya Mike Sebalu. Ababaka ba Parliament okuva mu bitundu bya West Nile baagala gavumenti okwaguyako okuyunga ekitundu kyabwe ku masanyalaze g’eggwanga, abantu bebakulembera basobole okwenyigira mu milimu egivaamu ensimbi n’okugatta ettofaali ku nkulakulana y’eggwanga.
Bano era baagala n’ebisuubizo ebyeyamibwa gavumenti mu kalulu k’omwaka gwa 1996 bituukirizibwe.
Okwogera bino, babadde mu ketegekelero kakwaniriza mukulembeze wa ggwanga Yoweri Kaguta Museveni ku bugenyi bwagenda okumalako ennaku 3 mu kitundu kyabwe nga yetegereza entabuza y’emilimu n’okwongera okukunga abantu okwettanira enteekateka za gavumenti okuli eya Parish Development Model, Emyooga n’endala.
Sentebe w’omukago ogugatta abakaka abava mu kitundu kino ogwa West Nile Parliamentary Caucus era nga ye mubaka wa Ora County mu Parliament Biyika Lawrence Songa agamba nti mu bisuubizo ebyalema okutuukirizibwa mwemuli n’amakubo.
Omukulembeze w’eggwanga okulambula kwe agenda kutandikira mu kibuga Arua era nga ajja kutuukako ne mu bitundu by’e Obongi gy’asuubirwa okworezeganya n’abantu baayo mu bitundu ebye Madi.
Wabula obugenyi bw’omukulembeze w’eggwanga bwajidde ku lunaku lwelumu ng’emyaka leero ku lw’okubiri giweze 44 bukya nga eyali omukulembeze w’eggwanga Idd Amin Daada amamulwa ku bukulembeze bw’eggwanga lino.
Iddi Amin yali mwaana nzaalwa owa district eye Koboko nga mu kiseera kino kitundu ku West Nile.
Kino kyaleseewo endowooza nti oba oli awo abaategeka obugenyi bw’omukulu bakikola nga kigenderere.
Wabula akulira eby’amawulire mu kibiina ekiri mu bukulembeze Emmanuel Dombo agamba nti ennaku zakwataganye bukwataganyi naye nga tekyaali kigenderere.
Abayeekera ba Uganda nga bayambibwako eggye ky’eggwanga lya Tanzania, bawamba ekibuga Kampala nga 11/04/1979 era bwebatyo nebamaamulako President Amin eyaliko mu kiseera ekyo.
Oluvanyuma lw’okuwamba, Amin yawangangukira mu gwanga lya Libya ate eyo gyeyava neyeyongerayo e Iraq er oluvanyuma nafiira e Saudi Arabia mu mwaka ogwa 2003.