Amawulire

Ab’ebivvulu bafera Museveni akawumbi 1

Ab’ebivvulu bafera Museveni akawumbi 1

Ivan Ssenabulya

August 21st, 2019

No comments

Bya Ivan Ssenabulya

Ekibiina ekitaba abategeka ebivvulu abayimbi n’ab’ebifo ebisanyukirwamu ekya Uganda Music Promoters and Venue Owners Network kisabye gavumenti ku nninga enonyereza ku bategesi bebivvulu abafera, omukulemnbeze we gwanga Yoweri K. Museveni beyaliyirira akawumbi 1 nobukadde 800 gyebuvuddeko.

Ssente zino zaweebwa abategesi abagmbibwa nti bafiirwa olwebivvulu bya Bobi Wine byebasazaamu.

Wabula omukwnaganya wemirmu gyekibiina kya UMPNET Tony Ssempijja agambye nti amaka gobwa presidenti tebabuzaako, batekayo buteesi ssente neku accounta zabantu abakyamu, nga nemiwendo gya ssente gidumuuddwa.

Bino yabyesigamizza kubekibiina ekitaba ebibiina byobwegasi n’obukolero obutonotongo ekya Uganda Inter-Cottages abatudde ku wofiisi ze oba Cordination center olunnaku lwe ggulo, nga babanja gavumenti obuwmbi 2 nobukadde 700.

Ssente zino bagamba nti zabasubizbwa gavumenti olwomwoleso gwebategeka ku Old Kampala.

Kati Ssempijja asabye ssentebbe wakakiiko akatekebwawo okunonyereza ku nguzi okuva mu maka gobwa puezidenti Lt Col Edith Nakalema ensonga eno ajinonyerezeeko.